Specioza Kazibwe

Bisangiddwa ku Wikipedia
Specioza Wandira Kazibwe (cropped).jpg

Specioza Naigaga Wandira Kazibwe, munnayuganda omusawo omutendeke mu byokulongoosa ate era munnabyabufuzi. Omukyala ono era ayitibwa Nnaalongo olw'ensonga nti yazaala abaana abawala nga balongo. Yaliko omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga Uganda okuva mu mwaka gwa 1882 okutuuka mu 2003.Ye mukyala ku lukalu lwa Africa eyasooka okukoonola ekifo ky'obumyuka bw'omukulembeze w'eggwanga mu ggwanga eririna obwetwaze.[1] Mu Gwomunaana, 2013, ssaabawandiisi w'ekitongole kya United Nations, Ban Ki-Moon yalonda Specioza okukulembera kaweefube w'okulwanyisa endwadde ya mukeenenya ku lukalu lwa Africa.[2]

Ebyafaayo n'obuyigirize bwe[kyusa | edit source]

Specioza Kazibwe yazaalibwa mu ddisitulikiti y'e Iganga nga 1 Ogwomusanvu, 1954. Yasomerako ku Mount Saint Mary's College Namagunga, essomero ly'ekisulo nga lya bawala bokka eryesigamiziddwa ku musingi gw'ekikatuliki era nga lisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja okuliraana akabuga k'e Lugazi. Mu mwaka gwa 1974, Specioza yagenda mu bbanguliro ly'abasawo ku ssettendekero e Makerere (Makerere University School of Medicine), gye yasomera obusawo bw'abantu era n'afuna ddiguli ya Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery mu mwaka gwa 1979. Yeeyongerayo n'afuna ddiguli ey'okubiri mu busawo (Master of Medicine), era nga nayo yagifunira mu Makerere University Medical School, nga amakanda yagasimba mu kulongoosa bantu (General Surgery). Mu mwaka gwa 2009, yaweebwa ddiguli ya Doctor of Science (SD) okuva mu Harvard School of Public Health, Department of Population and International Health.[3]

Obukugu bwe[kyusa | edit source]

Kazibwe yatandika olugendo lwe olw'ebyobufuzi nga mmemba mu kiwayi ky'abavubuka n'abakyala mu kibiina kya Democratic Party. Mu mwaka gwa 1987, Kaziibwe yawangula akalulu ke akaasooka ng'omukulu w'ekyalo era nga yajjira ku kkaada y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Oluvannyuma yalondebwa okukiikirira abakyala mu ddisitulikiti y'e Kampala era n'afuuka ssentebe w'akakiiko akawabuzi akaanoonyeza Museveni akalulu.

Yasooka okuweereza mu bukulembeze bwa Yoweri Museveni mu mwaka gwa 1989, bwe yaweebwa ekifo ky'obumyuka bwa Mminisita atwala ebyamakolero n'aweereza mu kifo kino okutuusa mu mwaka gwa 1991. Okuva mu mwaka gwa 1991 okutuuka mu 1994, Kazibwe yaweereza nga Mminisita wa Gender and Community Development. Yali mmemba ku lukiiko olukulu olwabaga ssemateeka wa Uganda omupya mu mwaka gwa 1994. Mu mwaka gwa 1996, yalondebwa mu ddisitulikiti y'e Iganga okukiikirira ekitundu kya Kigulu South mu lukiiko lw'eggwanga olukulu. Specioza Kazibwe yaweereza nga omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga era Mminisita w'ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi okuva mu mwaka gwa 1994 okutuuka mu 2003.

Kazibwe abadde mulwanyirizi wa bakyala ku lukalu lwa Africa. Nga yeegasse n'ekitongole kya Organization of African Unity n'ekya United Nations Economic Commission for Africa, Kazibwe mu mwaka gwa 1998 yatandikawo ekibiina ekimanyiddwa nga African Women Committee on Peace and Development (AWCPD) era nga ye ssentebe waakyo. Ekigendererwa kya AWCPD kwe kuyambako okusobozesa abakyala okwenyigira mu nteekateeka ezigendererwamu okutumbula eddembe n'enkulaakulana ku lukalu lwa Africa. Dr. Kazibwe era abadde ssentebe w'obukiiko obuwerako mu ggwanga era nga muno mulimu:

-The Senior Women's Advisory Group on the Environment

-The Uganda Women Entrepreneurs Association LimitedThe Uganda Women Doctors Association

-Agri-Energy Roundtable Uganda (AER/U)

Kazibwe yakubiriza okuteesa kwa AER/Uganda nga 25 Museenene, 1991 okwali ku Kampala Sheraton ate era n'aweereza ne ku kakiiko akamanyiddwa nga Honor of the Agri-Energy Roundtable (AER) okumala emyaka egiwera, gye yamanyikira ennyo. Mu mwaka gwa 1998, ekitongole ekimanyiddwa nga Food and Agriculture Organization (FAO) kyamuwa omudaali (Ceres Medal) olw'omulimu gwe yakola okusobola okulaba nga ebbula ly'emmere liggwaawo wamu n'okufufuggaza obwavu.[3]

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Mu mwezi Gwokuna mu mwaka gwa 2002, Kazibwe yawaayo ekiwandiiko ekyali kisaba okwawukana ne bba, n'agamba nga bwe yali yeetamiddwa embeera y'okutulugunyizibwa mu maka olutatadde. [4] Abasajja okuwasa abakazi abangi wamu n'okubakuba muze ogweriisa enkuuli mu Uganda, naye ate abaawukana be batono ddala. kino bba yakiwakanya nga bw'ajuliza ne ku nzikiriza y'eddiini y'ekikatuliki, era nga bw'agamba nti mukyala we yali akomyewo kikeerezi ewaka ate nga tamuwadde nsonga ya ssimba, n'ekirala nti yali akoze omukago ne bannabyabufuzi abamu be yali tayagala.[5] Oluvannyuma lw'okuzibuwalirwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw'ebyobufuzi wamu n'okukwasaganya ensonga y'okwawukana ne bba eyalimu vvulugu omuyitirivu, Kazibwe yasalawo n'alekulira okuva mu bifo bye yalina mu gavumenti. kino yakikola ku Lwokusatu nga 21 Ogwokutaano, 2003 era n'asaba okweyongerayo mu maaso n'emisomo gye. Yamaliriza ddiguli ye ey'okusatu gye yasomera ku Harvard University. Kazibwe alinaabaana bana ng'ogasseeko n'abalongo be yazaala mu bufumbo bwe obwasooka ate era ng'alina n'abalala baayamba.[1][4]

Ebijulizo[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)

Emikutu emirala[kyusa | edit source]